Psalms 12

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1 aTuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2 bBuli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

3 c Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”

5 d Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
6 eEbigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
Bigeraageranyizibwa n’effeeza
erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

7 fAyi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
8 gAbabi beeyisaayisa
nga bagulumiza ebitaliimu nsa.
Copyright information for LugEEEE